Judges 13:6-11

6 aAwo omukazi n’agenda n’ategeeza bba, ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda yandabikidde mu kifaananyi kya malayika wa Katonda, era natidde nnyo. Simubuuzizza gy’avudde, ate era naye tambulidde linnya lye. 7Wabula yaŋŋambye nti, ‘Laba oliba olubuto era olizaala omwana wabulenzi. Tonywanga envinnyo newaakubadde ekitamiiza kyonna, wadde okulya ekintu kyonna ekitali kirongoofu. Kubanga omulenzi aliba Muwonge eri Katonda ng’akyali mu lubuto lwa nnyina, era bw’atyo bw’aliba ennaku ez’obulamu bwe zonna.’ ”

8Awo Manowa ne yeegayirira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Ayi Mukama, omusajja wa Katonda gwe watutumidde, akomewo. Ajje atuyigirize kye tuteekwa okukolera omulenzi anaatuzaalirwa.” 9Katonda n’awulira eddoboozi lya Manowa, malayika wa Katonda n’akomawo eri omukazi, n’amusanga mu nnimiro, naye nga Manowa bba tali naye. 10Awo omukazi n’ayanguwa n’adduka n’ategeeza bba ng’agamba nti, “Laba omusajja eyandabikira olulala azze.”

11Manowa n’agolokoka n’agoberera mukazi we. Bwe yatuuka awali omusajja n’amugamba nti, “Ggwe musajja eyayogera eri mukazi wange?” Malayika n’amuddamu nti, “Ye nze.”
Copyright information for LugEEEE